OLUKIIKO OLW'OMWOYO (#6275)

*Buli lwe muyingira awakuŋŋaanirwa mwatule essaala eno n’omutima ogutujja n'okwagala Kwa Katonda era n'olulimi olunaaziddwako byonna okuggyako okumujjukira Ye, bwatyo Oyo Owaamaanyi-Gonna asobole, ku lw’ekisa okubabeera mutuuke ku buwanguzi obw’oku ntikko.


Ayi Katonda, Katonda wange!  Ffe tuli baddu Bo abakyuse n’okwewaayo eri Amaaso Go Amatukuvu mu Lunaku luno olw'ekitiibwa.  Tukuŋŋaanidde mu Lukiiko olw’Omwoyo luno, nga tuli bumu mu ndowooza zaffe n’ebirowoozo byaffe, n'ebigendererwa byaffe nga bikwanaganyiziddwa olw’okugulumiza Ekigambo Kyo wakati mu bantu bonna. Ayi Mukama Katonda waffe!  Otufuule obubonero bw' Okuluŋŋamizibwa Kwo Okutukuvu, Minzaani y' Enzikiriza Yo egulumizibwa wakati mu bantu, abaddu b’Endagaano Yo eyamaanyi.  Ayi Ggwe Mukama waffe ali Waggulu Ennyo, ababaka ab’Obumu Bwo Obutukuvu mu Bwakabaka Bwo obwa Abhá, n’emunnyenye ezekitiibwa ezimulisa ebitundu byonna.  Mukama! Otubeere tufuuke ennyanja ezibimba n'amayengo ag'Ekisa Kyo ekyewuunyisa, emyala egikulukuta okuva mu Nsozi engulumivu ezekitiibwa-kyonna, ebibala ebirungi ebiri ku Muti ogw’Enzikiriza Yo entukuvu, emiti egyewuubira mu mpewo z'Ekirabo Kyo mu Lusuku olutukuvu olw’Emizabbibu.  Ayi Katonda!  Okkirize emyoyo gyaffe okubeerawo nga gyesigamye ku Nnyiriri z'Obumu Bwo Obutukuvu, emitima gyaffe gigumizibwe n'ensulo ez’Ekisa Kyo, bwetutyo tusobole okwegatta nga amayengo ag'ennyanja emu, era tuyungibwe wamu nga omusana gw’Ekitangaala Kyo Ekyakaayakana; bwekityo ebirowoozo byaffe, endowooza zaffe, engeri gye twewuliramu, bisobole okufuuka nga eddoboozi limu, eryolesa omwoyo gw’obumu okwetooloola ensi yonna.  Ggwe Oweekisa, Omugabirizi, Lugaba, Asinga-byonna, Omusaasizi, Alumirirwa.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

OLUKIIKO OLW'OMWOYO (#6276)

*Mukuŋŋaane wamu mu ssanyu erya nnamaddala, era ku ntandikwa y'olukuŋŋaana, mwatule mmwe essaala eno:
Ayi Ggwe Mukama ow'Obwakabaka!  Newaakubadde emibiri gyaffe gikuŋŋaanye wamu wano, naye ate emitima gyaffe egitenguddwa giwaluddwa okwagala Kwo, naye ate era ne tusuumusibwa n’omusana oguva mu maaso Go agekitiibwa.  Newaakubadde tuli banafu, tulindirira okubikkulirwa kw’amaanyi n'obuyinza Bwo.  Newaakubadde tuli bankuseere, nga tetulina byamaguzi wadde ebyokukozesa, naye era twongera okufuna ebyobugagga okuva mu by’obugagga bw'Obwakabaka Bwo.  Newaakubadde tuli matondo, naye era tweyongera okusena okuva mu buziba bwa ssemayanja Wo.  Newaakubadde tuli bukyu, naye era tweyongera okwakaayakana mu kitiibwa ky’Enjuba Yo ennungi ennyo.  Ayi Ggwe Omugabirizi waffe!  Osse ku ffe obuyambi Bwo, olwo buli omu akuŋŋaanye wano asobole okufuuka omusubbaawa ogukoleezeddwa, buli omu afuuke entabiro y’okusikirizibwa, buli omu afuuke omulanzi eri obwakabaka Bwo obw'omu ggulu, olwo ku nkomerero tufuule ensi eno etatuukiridde ebeere nga ekifaananyi kyennyini eky'Olusuku Lwo Olutukuvu.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

OLUKIIKO OLW'OMWOYO (#6277)

*Essaala eddibwamu mu kuggalawo ensisinkano y’Olukiiko lw’Omwoyo.

Ayi Katonda!  Ayi Katonda!  Nga oyima mu bwakabaka bw'obumu Bwo otutunuulire ffe nga tukuŋŋaanye mu nsisinkano eno ey'omwoyo, nga tukkiririza mu Ggwe, nga tulina obwesige mu bubonero Bwo, nga tuli banywevu mu Ndagaano Yo n'Eddaame Lyo, nga tusikirizibwa eri Ggwe, nga tukoleezeddwa n'omuliro gw'okwagala Kwo era nga abeesimbu mu Nzikiriza Yo.  Tuli baddu mu lusuku Lwo olw’emizabbibu, ababunyisa eddiini Yo, abakusinza Ggwe mu kwewaayo, abawombeefu era abaagalwa Bo, abawulize mu maaso g'oluggi Lwo, era abakwegayirira Ggwe okutukakasa mu kuweereza abalonde Bo, okutubeera n’amagye Go agatalabika, onyweze ebimyu mu buddu bwaffe eri Ggwe era n’okutufuula abawulize era abantu abasuute okusseekimu Naawe.
 Ayi Katonda waffe!  Tuli banafu, era Ggwe Owaamaanyi, Owoobuyinza.  Tuli bafu, era Ggwe Mwoyo gwennyini ogwobulamu.  Tuli banaku, era Ggwe Atubeezaawo, Owaamaanyi.
Ayi Mukama waffe!  Okyuse amaaso gaffe eri obwenyi Bwo, obwookusaasira, otuliise n’ekisa Kyo ekingi okuva ku mmeeza entukuvu, otujune n’amagye ga bamalayika Bo ab’oku ntikko era otukakase nga oyita mu batukuvu bo ab'omu Bwakabaka bwa Abhá.
Ddaladala, Ggwe Mugabirizi, Omusaasizi.  Ggwe Alina ebirabo ebikulu, era, ddaladdala, Ggwe Alumirirwa era Oweekisa.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

